Instructors Guide for BEUPA Learning Centres Luganda Year 1 - Term 1
Abstract
1. Okwaniriza
Munnange omusomesa, Omusomi waffe,
oba Akozesa ekitabo kyaffe.
Tukwaniirizza mu Mumuli Gw'omusomesa guno, ogwategekebwa okweyambisibwa mu kusomesa mu ttaamu esooka mu mwaka ogusooka mu nsomesa ya BEUPA. Gulimu emitwe egyesigamiziddwa ku mulamwa gwa 'We Tusomera'. Omumuli guno gutegekereddwa ggwe, omusomesa mu BEUPA, naye guyinza n'okuyamba ennyo abasomesa banammwe abali mu masomero aga bulijjo n'abatendesi b'abasomesa. Omumuli guno gujja kukuyamba mu kutendekebwa okusookerwako, okusobola okukutegekera ebikwolekedde ng'otuuse mu kibiina. Eky'omukisa, omumuli guno gujja kukuyamba buli lunaku, okusomesa amasomo go, singa onoobeera ng'okisoma buli lw'obeera otegeka by onoosomesa era ne mu kusomesa n'okyeyambisa. Ekitabo kino kigezaako okweyambisa ebikwatagana n'ekyokuyiga ate nga bisinga kwesigamizibwa ku mwana, mu nsomesa. Tusuubira nti kijja kukuyamba nnyo. Omumuli guno guyamba ku kutegeera ekitabo ky'abayizi, era mwe muli endagiriro yonna gye weetaaga okusobola okukozesa obulungi ekitabo ky'abayizi.
Omumuli guno gwe gusoose obulala omwenda nga buli kamu ka ttaamu emu. Bwonna obutabo omwenda bujja
kuyamba ku kusomesa ebisomesebwa okumala emyaka esatu omuyizi gy'amala mu BEUPA. Eby'okuyiga ebirimu
bye bino: Olulimi olunnansi, Okubala, Ssaayansi Omugatte, Abantu N'embeera Zaabwe (SST) n'Olungereza
(English). Nga bwe twayogedde edda, kiyinza okuyamba abasomesa abali mu masomero ga bulijjo, n'abatendesi
b'abasomesa n'abo abatendekebwa mu busomesa kubanga be babeera ekyokulabirako eri bannaabwe
abatendekebwa. Ku bino eby'okuyiga ebitaano, BEUPA etegeka okwongerako ekitabo ekiyigiriza eby'emikono.
Ebitabo ebisatu ebisooka bigenderako eby'abayizi bibiri: Ekimu kiri 'Tusome Oluganda 1' ekisomesa Olulimi Olunnansi, Ssaayansi Omugatte n'Abantu N'embeera Zaabwe (SST). Ekirala kye 'Tuyige Okubala 1' ekisomesa Okubala. Mu mwaka ogusooka, Olungereza olugenda okusomesebwa lugenda kubeera Iwa kwogera bwogezi Olw'ensonga eno, ensomesa ekulagirirwa mu 'mumuli' ya kukuyamba kutandika kusomesa Lungerreza ng'olulimi olugwira, kye tuva tutabeera na katabo ka bayizi kayigiriza Lungereza.
Collections
- Education Guidelines [32]