Tuyige Ssaayansi Omugatte ne ku Bantu n'Embeera Zaabwe Omwaka 2
Abstract
ENNYANJULA
Mu mwaka ogwasooka, abayizi bye baalina okuyiga mu Ssaayansi Omugatte ne ku Bantu n'Embeera Zaabwe byombi byateekebwa mu kitabo 'Tusome Oluganda 1. Mu kiseera ekyo, abayizi baali tebannayiga kusoma, nolwekyo kyali tekyetaagisa kuba na kitabo kyetongodde. Ebifaananyi ebyakozesebwa mu kusomesa amasomo ago byateekebwa mu kitabo ekisomesa Oluganda.
Mu mwaka ogwokubiri, ekitabo ky'abayizi kitegekeddwa nga kiyitibwa 'Tuyige Ssaayansi Omugatte ne ku Bantu n'Embeera Zaabwe Omwaka 2. Ekitabo ekyo kirimu eby'okweyambisa ng'osomesa Ssaayansi Omugatte ne Abantu n'Embeera Zaabwe. Ekitabo ekyo kiriko ekitabo ky'omusomesa ekikigenderako. Omwo mulimu ebintu bingi ebyongereza ku kitabo ky'abayizi, wamu n'endagiriro y'okukikozesa obulungi. Ekitabo ky'omwaka ogwokusatu kijja kugoberera kino.
Ekitabo kino kiwandikidwa mu lulimi Oluganda, era ng'eky'okubala n'olulimi olunnansi. Ekyo kikoleddwa kubanga Oluganda lwe lulimi olukozesebwa mu kitundu era n'abayizi mwe bayigira ku ssomero. Ebirungi ebiri mu kuyigiriza abayizi amasomo gano mu Luganda, okuggyako Olungereza, mu myaka ebini egisooka biweereddwa mu' Tusome Oluganda 1'.
Ensomesa
Ekitabo ky'abayizi n'eky'omusomesa ekigenderako, biwandikiddwa nga bigoberera sirabaasi ey'amasomero ga pulaimale aga bulijjo. Wabula ekiyinza okuba nga kikyuseemu y'ensengeka y'ebyokuyiga n'essira we liteekeddwa mu by okuyiga olw'okusobozesa okugoberera ensomesa eri ku mulembe.
Ensonga y'abayizi okuyiga nga beenyigiramu bo bennyini nkulu nnyo naddala nga basoma Ssaayansi Omugatte. Noolwekyo, abayizi basaanye baweebwe omukisa okukolayo eby'okulabirako omuli okugezesa. Ekyo kiba kitegeeza nti ekitabo ky'abayizi kya kweyambisa ng'ekyokuyigirako ekyongera okunyonnyola ku by'okulabirako ebiba bikoleddwa.
Ebyokukola, ebisomesebwa wamu n'ebifaananyi ebiri mu kitabo kino birondeddwa okusinziira ku mbeera yomwana munnaUganda abeera mu bifo eby'abafunampola (abaavu) mu bibuga bya Uganda. Embeera n'ebintu eby'enjawulo ebikozesebwa by'ebyo ddala omuyizi by'amanyidde. Eby'okweyambisa mu kusomesa bifuniddwa okuva mu bintu omuyizi by'amanyira ebimwetooloodde. Eby'okulabirako n'ebifaananyi birondeddwa na bwegendereza bisobozese okunyumizisa omuyizi ky'asomako ssaako okutegeera obulungi olwo abe ng'asobola okukwataganya by'ayiga mu masomo ga Ssaayansi n'abantu n'Embeera Zaabwe n'obulamu obwa bulijjo.
Ebigendererwa bya Ssaayansi Omugatte
Omwaka ogw'okubiri we gunaggweerako ng'omuyizi ayize okukola bino wammanga: okumanya enjawulo mu bintu ebirina obulamu n'engeri gye bibeerawo, ennekuuma yaabyo n'okuzaala
.
engeri ebintu ebirina obulamu gye bikolaganamu bisobole okubeerawo.
amagezi ku by'okulima.
embeera z'obudde, ebikola embeera y'obudde, n'enkozesa y'ebyuma ebiteebereza embeera y'obudde. engeri ebyobulamu bw'omuntu gye bikwataganamu n'ebyekitundu mwabeera n'obuzibu obuva ku mbeera y'ebyobulamu embi.
ebinisa ebiri mu bika by emmere eby'enjawulo n'engeri gy'ayinza okweyambisa ky'ayize mu nonda y'emmere gy'alya olunaku.
eminmu omubiri gye gukola n'engeri eyokugukuuma nga mulamu bulungi. ensasaana ya siriimu n'engeri omuntu gy'ayinza okumwewalamu
Ebigendererwa by'okusoma ku Bantu n'Embeera Zaabwe
Omwaka ogw'okubiri we gunaggweerako omuyizi ng'ayize:
okukuhhanya n'okusengeka data.
okusoma n'okukuba maapu.
obutonde bw'ensi kye ki, okubukuuma n'okubutaasa.
okumanya disitulikiti ye w'esangibwa n'ebifo ebikulu ebirimu.
ebizibu ebiva mu bungi bw'abantu okweyongera.
enteekateeka y'okuzaala abaana.
Ensegeka y'ekitabo
Ekitabo kino kyawuddwamu ebitundu bibiri. Ekimu ebyeyambisibwa mu kusoma Ssaayansi Omugatte (okuva ku muko 8 okutuuka ku 73), ate ekirala ekirimu ebyeyambisibwa mu kusoma ku Bantu n'Embeera Zaabwe (omuko 74- 109).
Ssaayansi Omugatte alimu essuula 10 nga zaawuddwamu bwe ziti. Essuula 1-5 zisomebwa mu lusoma olusooka mu mwaka ogwokubiri, essuula 6-8 zisomebwa mu lusoma olwokubiri mwaka ogwokubiri ate essuula 9 esomebwa mu lusoma olwokusatu omwaka ogwokubiri.
Olusoma olusooka omwaka ogwokubiri lukwata ku "Ensi y'ebintu ebirina obulamu". Ebintu ebirina obulamu bya kwawulwamu mu bubinja. Ekirala eky'okusomako y'engeri ebisolo n'ebimera gye bibeerawo, gye byekuumamu, wamu n'okuzaala. Enkolagana y'ebintu ebyo nayo ya kwogerwako. Olusoma lunaabaamu eky'okwekwatiramu ekifa ku bulimi.
Mu lusoma olwokubiri omwaka ogwokubiri, ekitabo ky'abayizi kikwata ku "Disiulikiti yaffe". Omwo, bannyonyola enkyukakyuka y'embeera y'obudde. Era bayiga ku byobulamu mu kitundu n'obuzibu obugenderako ng'essira liteekeddwa ku musujja gw'ensiri ne siriimu. Essuula esembayo ekwata ku mmere n'endiisa enungi wamu n'okukuuma emmere nga nnyonjo.
Mu lusoma olwokusatu omwaka ogwokubiri, abayizi bakutandika okuyiga ku mubiri gw'omuntu n'endwadde ezisaasaanyizibwa. Ebitundu ebikola ku kussa, entambula y'omusaayi, emmulungula y'emmere, ebinywa n'ehhumbagumba mu muntu bya kwogerwako. Abayizi era bakuyiga ku bitundu ebizaala n'enkyukakyuka ezibeerawo mu mibiri gy'abantu nga bagenda bakula. Essuula ekwata ku ndwadde ezisaasaanyizibwa essira erisimbye ku byabuyonjo bw'abantu n'ebifo we babeera, wamu n'okugema. Ebyafaayo ebirala ku bulwadde bwa siriimu nabyo byongeddwamu.
Abantu n'embeera zaabwe mulimu essuula 6. Essuula 1-3 zisomesebwa mu ttaamu 1 omwaka 2, essuula 4 esomesebwa mu ttaamu 2 omwaka 2, ate essuula 5 esomesebwa mu ttaamu 3 omwaka 2.
Muttaamu 1 omwaka 2, abayizi bakuyiga ku ngeri gye bakuhhanya data n'okugisengeka. Bajja kukizuula nti ebintu
ebiramu bya mugaso nnyo eri omuntu, noolwekyo, bayige enkuuma n'enteesa y'obutonde bw'ensi.
Ttaamu 2 omwaka 2 ekwata ku "Disitulikiti yaffe". Abayizi bejjukanya ku kusoma maapu era baweebwa omulimu gw'okukuba maapu. Engeri disituliki gy'egenda eyawulwamu ebitundu okuva ku ggombolola okutuuka ku miruka byonna binyonyoddwa. Ebifo n'amatendekero amakulu mu disitulikiti y'eKampala byogerwako. Essuula ekomekerezebwa nga bakuwa ebikwata ku nguudo, amazzi n'okwekuuma ku ggaali y'omukka.
Ttaamu eyookusatu omwaka 2 ekwata ku bungi bw'abantu n'enteekateeka y'okuzaala.
Eby'okusoma byetooloolera ku mateeka g'okuyiga nti okuyiga kubeerawo mu mitendera esatu:
1. okubaako by 'okola: eby'okukola
2. okubako by'olaba: ebifaananyi .
3. okubako by'oyogera: olulimi n'obubonero
Omusomesa akubirizibwa okuleka abayizi ne babeera n'ebintu eby'okweyambisa mu kusomesa babimanye oba babiyige naddala singa bibeera ebipya gye bali. Zzaako ebifaananyi nabyo babyetegereze olwo otandike okubaluhhamya mu ngeri y'okukolamu ekyo kye bayize. Ekitabo ky'abayizi si kye kisaanye okusiinzirwako ng'osomesa wabula kiyamba musomesa kufunamu bifaananyi ebinaamuyambako ng'asomesa, mpozzi n'abayizi okwejjukanyizaamu ku bye bayize mu kugeza n'ebirala byonna. Oluvanyuma lw'essuula emu oba bbiri, abayizi baweebwa ebibuuzo ebyokwegezaamu.
Embeera z'abayizi
Ebifaananyi n'eby'okukola ebiri mu kitabo kino biraga embeera z'abayizi. Kisuubirwa nti ekyo kya kwongera okusanyusa abayizi bongere okunyumirwa bye bayiga mu Ssaayansi n' Abantu n'Embeera Zaabwe.
Tusuubira nti enjigiriza eno yakuyamba abayizi okugenderera ennyo bye baayiga mu Ssaayansi ne ku Bantu n'Embeera Zaabwe basobole okukola obulungi mu masomo ago. Okulongoosa n'okukyusaamu ku lw'obulungi bw'ekitabo kino kwonna kwanirizibwa nnyo era kwa kutuyamba nga tulongoosa mu kitabo kino ekiri mu kugezesebwa.
Collections
- Curriculum Books [50]