Bonna Basome ku lulwo ne Uganda
Abstract
'Bonna Basome' kisobozesa abaana bonna okusoma n'okumalako pulayimale. N'olwekyo 'Bonna Basome' asobozesa abaana ba Uganda bonna okuyiga okubala, okusoma n'okuwandiika. Bwe baba basobola okukola ebintu nga bino, baba bajja kusobola okulongoosa obulamu bwabwe. Kino kya muwendo gye bali n'eli eggwanga lyonna.
Yogera ku 'Bonna Basome' ogifuule ennungi okusingawo.
Akatabo kano kajja kukuyamba okukola ebintu ebituufu ebinaasobozesa omwana wo okumaliriza ekibiina eky'omusanvu n'okweyagalira mu biva mu 'Bonna Basome', ng'okuyiga okusoma n'okuwandiika.